Skip to content Skip to footer

Mukazi yatta bba n’abaana baabwe 2 ya ndi yimbuulwa

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Nakawa Wilson Masalu Musene awadde oludda oluwaabi wiiki emu yokka okuwayo obujulizi ku mukazi gwebalumiriza okutta bba n’abaana baabwe 2.

Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Doreen Erima okulemererwa okulabikako okulumiriza omukyala ono omulamuzi omusango n’agwongerayo okutuusa nga 26 September.

Oludda oluwaabi lurumiriza nti Edith Kayaga nga 3rd June 2013 yayokya enyumba yaabwe omwafiira bba Ismail Kawooya e Buwaate mu disitulikiti ye Wakiso saako n’abaana be babiri Nakubulwa Shakira ne Namale Saida.

Leave a comment

0.0/5