
Entiisa ebutikidde abayizi n’abasomesa ku ssomero lya Modern Primary school mu Kabuga k’e Nyendo mu Masaka oluvanyuma lw’omuliro okukwata essomero lino negutta omuyizi omu wamu n’okusanyawo byabukadde.
Omugenzi tannategerekeka naye nga kigambibwa abadde asoma kibiina kyakuna.
Akulira poliisi enzinya mooto mu kitundu kino Bernard Ssembusi ategezezza nga omuliro guno bweguyinza okuba nga gwavudde ku masanyalaze kubanga bawayaringa bubi ekisulo ekkutte omuliro.
Ye omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza akabenje kano era n’ategeeza nga poliisi bweri ku muyiggo gw’omukulembeze w’essomero lino Hadadi Waswa gwebalumiriza okulagajalira obulamu bw’abayizi nga abasuza mu bisulo ebizimbiddwa mungeri etali yakikugu.