
Wabaddewo akavuyo ku kisaawe e Namboole nga abakungu b’e kibiina kya FDC betegekera ttabamiruka.
Wabaddewo obutakkanya wakati wa poliisi n’abawagizi b’abyesimbyewo aba Maj. Gen. Mugisha Muntu ne Dr. Kiiza Besigye.
Omudumizi wa poliisi ye Kiira Jacob Okullu akuliddemu ebyokwerinda ku kisaawe kino aweze ebintu byonna ebiriko ebifananyi by’abeimbyewo.