Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni olwaleero asubirwa okuvaayo namakubo amappya gagenda okulangirira, mu lutalo olwokulwanyisa enguzi.
Kino kisubirwa ngegwanga lijaguza olunnaku lwokulwanyisa enguzi, emikolo egigenda okubeera ku kisaaw ekyemikolo e Kololo ngeno omukulembeze we gwanga gyasubirwa ngomugenyi omukulu.
Gyebuvuddeko yye kalisoliiso wa gavumnti, omulamuzi Irene Mulyagonja yategeeza nti waliwo obwetaavu, okuvaayo nekola okulondolanga abkozi ba gavumenti ate nokuzza ensmbi zebabbye mu nguzi, obutalinda kooti kubanga etwala obudde ngekyawulira emisango.
Kati ebibalo okuva mu banka yensi yonna, biraga nti akesedde ka $ 1 kekagabibwa mu nguzi buli mwaka, nga ziva mu basubuzi nabantu ssekinoomu.