Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj General Mugisha Muntu avumiridde ekyapoliisi okumala gakubanga masasi mu bantu.
Kiddiridde ebigambibwa nti poliisi yeyakubye omu ku bawagizi b’ekibiina amasasi agamutuusizza nekukitanda.
Omuvubuka ono eyategerekese nga Geoffrey Bbaale kigambibwa nti y’akubiddwa essasi mu kavuvungano ne poliisi bweyabadde okubatangira okukubira mu kkubo nga boolekera ekitebe ky’ekibiina e Najjanankubi mu kusunsulibwa kw’eyali ssenkagale w’ekibiina kino Dr Kiiza Besigye.
Bbaale y’adduseiddwa mu ddwaliro e Nsambya nga ali bubi gyali mu kujanjabibwa mu kiseera kino.
Bw’abadde agenze okumulambulako mu ddwaliro, Muntu called asabye poliisi okweyisa mungeri y’ekikugu n’okukulembeza empisa ennungi nga bakola emirimu gyabwe.
