
Omukulembeze w’eggwanga era akwatidde ekibiina kya NRM bendera Yoweri Kaguta Museveni asuubizza okuliyirira abantu bonna abafiirwa ebyabwe mu kitta abantu ekyali e Rwanda mu 1994.
Pulezidenti bino y’abisuubizza akuba olukungaana lwe olwasembyeyo mu disitulikiti ye Kabale era n’asekerera abasuubira nti aweddemu ssupu nti agenda.
Ebikumi byabannayuganda ababeera ku nsalo eyawula Uganda ne Rwanda bafiirwa ebyabwe okwali ennimiro n’ente mu kitta bantu ky’e Rwanda.