Skip to content Skip to footer

Mwetegeke Enkuba Ejja

 

rains

Gavumenti ewadde amagezi abalimi mu ggwanga okwetegeka  okusiga kubanga enkuba essaawa yonna etandika okutonya.

Minister omubeezi ow’obutonde bw’ensi Flavia Munaaba agamba okusiziira ku kitongole ky’entebereza y’obudde, enkuba yandyeyongera okuba eyamanyi ku nkomerero y’omwezi guno.

Wabula alabudde ababeera mu bitundu ebitera okutataganyizibwa amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka okubeera obulindaala kubanga enkuba yandiba nyingi nebatataganya

Kino kiddiridde ekyeeya ekiludde okuva mu mweezi ogw’ekumi nogumu omwaka oguwedde ekikosezza abalimi nga kireesewo ebbula ly’emmere mu bitundu ebimu.

Leave a comment

0.0/5