Skip to content Skip to footer

Nabagereka ku siliimu

Nabagereka

Nabagereka wa Buganda Sylivia Naginda, asabye abakulembeze ab’ennono, okwenyigira obuterevu mu kulwanyisa obulwadde bwa siliimu, naddala okuva ku ba maama okudda ku baana.

Binio Nabagereka abyogeredde mu Lubiri e Mengo bwabadde atongoza kaweefube w’okulwanyisa akawuka ka siliimu okuva ku ba maama okudda ku baana.

Agambye nti ab’amagombolola, amasazza n’abakulu b’ebika, balina okukubiriza abantu owekebezanga omusaayi, nn’abasajja okukomolebwa.

Kino kye kijja okuyamba mu kukensdeeza okusasaana kw’obulwadde bwa siliimu.

Leave a comment

0.0/5