Abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda amaze okuziikibwa ku biggya bya bajjajja be Kisojo mu Kibinge.
Namungi w’omuntu okuba bannabyabufuzi, bannaddiini, n’abakulembeze abatali bamu beebawerekedde Namaganda okumugalamiza mu nyumba ye ey’olubereera.
Ng’ayogerako eri abakungubagizi, Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga agambye nti Obuganda ne Uganda bufiiriddwa omukazi abadde omukozi ate afaayo ku bantu be.
Asabye n’abagoba b’ebidduka okugondera amateeka ku nguudo okukendeeza ku bubenje
Namaganda yafiira mu kabenje ku lw’okutaano oluwedde.