Omubaka wa municipaali eye Mukono Betty Nambooze wakutwala okusaba kwe eri palamenti, Mukono asuumusibwe afuuke ekibuga.
Nambooze agamba ebitundu okuli Mukono ne Wakiso bisanye okukozesebwa okukendeeza omugotteko mu kibuga Kampala.
Nambooze awakanya ekyokugaziya Kampala mu Mukono nga ayagala kibeere ekibuga ekyetengeredde.
Nambooze era ayagala ebimu ku bitongole bya gavumenti bitwalibwe e Mukono n’asaba bannayuganda bonna okumuwagira mu kino.
