Gavumenti y’eggwanga lya South Africa egobye okusaba mu mateeka okukoleddwa muk’omugenzi Nelson Mandela nga ye Winnie Mandela okwezza amaka ga bba ag’omukyaalo
Mu mpappula z’atadde mu kkooti , Madikizela Mandela agamba nti enyumba eno omugenzi yali yagissa mu mannya ge.
Enyumba eyogerwaako ebalirirwaamu obukadde bwa doola 4 mu emitwalo 30.
Madikizela Mandela namwandu ow’okusatu yali yayawukana ne bba mu mwaka gwa 1996.
