Minisitule y’ebyobulamu yakugema abaana obukadde 7 okuva eri obulwadde bw’olukusense.
Okugema kuno okwekikungo kwakutandika okuva nga 3 October omwaka guno.
Minisita omubeezi ow’obujanjabi obusookerwako Sarah Opendi agamba bakugem abaana abatanaweza mwezi okutuusa kwabo abalina emyezi 59 okusobola okukendeeza ku kirwadde kino mu baana.
Enteekateeka yonna esuubirwa okumalawo obuwumbi 33 nga era bakutwaliramu n’okugema ekirwadde kya Polio mu disitulikiti mw’asinga okwejirisiriza 23.
Zino kuliko Adjumani, Kampala, Kasese n’ewalala.