Skip to content Skip to footer

SSabalamuzi alumbye bannabyabufuzi

File photo: Ababaka ba Palimenti
File photo: Ababaka ba Palimenti

Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Magumba Katureebe avumiridde banabyabufuzi abeyingiza mu mirimu gy’esiga eddamuzi mu kifo ky’okutumbula obukulembeze obulungi.

Katureebe ategezezza nti abantu abali mu buyinza nga bannabyabufuzi, ababaka ba pulezidenti, poliisi abamakomera n’abalala balina kukolaganira wamu okulwanyisa obuzzi bw’emisango emisango gireme kwetuuma.

Katureebe bino abyogeredde ku kkooti enkulu e Soroti bw’abadde ayogerako eri abakulembeze ba disitulikiti ku nsonga z’ekilamuzi.

Wabula Katureebe awadde bannayuganda bonna amagezi okuloopa emisango gyonna naddala ababasaba enguzi okukola ku misango gyabwe.

Leave a comment

0.0/5