Omukulembeze w’abagoba aba Taxi mu Kampala Mustafa Mayambala asabye poliisi okukwata abo bonna abali emabega wokumukuba kata bamumize omukka omusu.
Mustapha Mayambala yalumbiddwa abantu abatanaba kutegereka e Nakivubo ng’agenda okunona emotoka yye olunaku lwajjo.
Bano bamukubye ebikonde ebyamutusizza ku ku kitanda e Nsambya gy’asibudwa olunaku lwaleero.
Twogeddeko naye n’ategeeza nga bw’akyali omugonvu wadde ng’asibuddwa .
KCCA bw’etukiriddwa ku nsonga eno etegezezza nga bw’ebadde tenafuna mawulire gano wabula n’etegeeza nga bw’egenda okunonyerezza okulaba oba nga waliwo abantu abakyamu abagala okwonoona erinya lye kitongole.