Skip to content Skip to footer

Okukomola abakyala mu mbugo kukendedde

FGM

Ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola kunsonga z’abaana ekya UNICEF kitegezezza ng’omuwendo gw’abaana abawala abakomolebwa bwegukendedde.

Kino kivudde ku kawefube akoleddwa okusomesa abantu akabi akali mu kukomola abakyala.

Okusinzira ku kitongole kya UNICEF emisango egyiropebwa gyeyongedde okutuuka ku misango 86 omwaka oguwedde, olwabantu okusomesebwa mu district 3 ezisinga okubeeramu omuzze gw’okukomola abakyala.

Omwogezi w’ekitongole kya  UNICEF Jaya Murthy agambye nti abawala abamu batandise n’okwerwanako,ngabagaana okubakomola.

 

Leave a comment

0.0/5