Bya Ivan Ssenabulya
Olwaleero lweziweze ennaku 4 okuva eryato ligwa mu Nyanja Nalubaale, neritta abantu abasoba mu 30 akabenje akagwa ku Mutima Beach.
Olwaleero poliisi namagye ge gwanga nate babukurezza nkokola, okusikayio eryato lino mu mazzi, omulimu ogwabadde gujulidde olunnaku olwe ggulo, wabula gyebuwungeredde nga terinavaayo.
Ekidyeri MV Kalangala, kyeyambisiddwa okukyusa eryato lino, eribadde lyevunise, nebaliska wabulanga tutegzeddwa nti likutuseemu, basika bitundutundu.
Bbo abaafirirwa abaabwe olwaleero baakedde kugumba ku mwalo ku Mutima okulaba obanga banalaba ku mirombao gyab we.
Harriet Nakimbugwe nga yye ssenga wa Eron Ndagire owemyaka 23, abadde omuyizi e Makerere abatuuze be Kitende Entebbe, agambye nti batebereza okuba nti omwana ono ayfiira mu kabenje kano akagwawo ku lwomukaaga.
Ababala betwogeddeko nabo kuliko Peter Kakooza okuva e Masaka, Sylivia Namutebi okuva e Nakisunga, Godfrey Musisi okuva e Kabalagala, Andrew Ssenyonga okuva e Kirek, nabalal nga baonna bali mub kyobeero ekitagambika.
Yye akulira ebikwekweto mu poliisi Asuman Mugyenyi yenyamudde olw’abanna-Uganda abagufudde omuzze okunenyanga police ku byaliwo.
Agamba nti abantu benyini baamanya emitawana egyali ku lyato lino kyoka mpaawo yanyega, nebagenda mu maaso okulilinnya.
Wabula abantu kuba kaownawo bawakanyizza ebigambiwab nti balabulwa.