
Okuwandiisa abagenda okukwatira ekibiina kya FDC bendere mu kalulu ka 2016 kutandika leero.
Ku ssaawa mukaaga eyali ssenkagale w’ekibiina kino Dr. Kiiza Besigye asuubirwa okuwandiisibwa nga ye ssenkaggale w’ekibiina Maj. Gen Mugisha Muntu asuubirwa lunaku lwankya.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino Dan Mugarura ategezezza nga buli yesimbyewo bw’alina okutuukiriza ebisanyizo byonna nga tannawandiisibwa.