Ensonga z’okukomyaawo aduumira abayekeera ba ADF mu ggwanga Jamil Mukulu zeyongeddemu kigoye wezinge.
Agava mu Tanzania galaga nga kkooti yaayo enkulu bw’etandise okuwulira omusango gwa Mukulu ng’avuganya Uganda nga tannakomezebwaawo wano
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti baweerezza ekibinja ky’abakugu okuva mu ofiisi ya ssabawaabi ne poliisi okulaba nti buli kimu kitambula bulungi
Enanga anyonyodde nti balinze omusango guno guggwe olwo balabe oba bamukwasa Uganda asobole okukomezebwaawo ne wano
Mukulu yakwatibwa mu ggwanga lya Tanzania omwezi oguwedde oluvanyuma lw’emyaaka ezisoba mu kkumi nga Uganda emuwenja
