Ababundabunda okuva e Burundi abasoba mu 500 beebamaze okwesogga Uganda
Bano batuukidde mu nkambi ya Nakivale ne Orukinga mu disitulikiti ye Isingiro
Abasinga ku bano bakyala na baana.
RDC we Isingiro omukulu Herbert Muhangi agambye nti abatuuka beebafunira webasula n’asaba bannayuganda okwaniriza abantu bano.
Embeera mu Burundi eyongera kuba ya bunkenke ng’omukulembeze ali mu ntebe alemedde ku ky’okuddamu okwesimbawo nga nabamuwakanya batabuse
Yye omuwaabi omukulu mu kkooti y’ensi yonna Fatou Bensouda alabudde bannabyabufuzi mu Burundi olw’okwongera emivuyo.
Bensouda agamba nti ebiri e Burundi bwebyatandika e Kenya ne IvoryCoast nga tebajja kukkiriza bigende mu maaso.
