Uganda yakutegeka olukungaana lwabasikawutu mu nsi yonna olumanyiddwa nga Jamboree wali e Kaazi mu August w’omwaka guno.
Byonna byakutandika nga 18 nga era omuyima w’abasikawutu mu nsi yonna kabaka w’eggwanga lya Sweden naye wakulwetabamu.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, minisita w’ekikula ky’abantu Muruuli Mukasa ategezezza nga abavubuka abasoba mu r 30,000 bwebasuubirwa okulwetabamu nga era baakuganyulwamu nyo kubanga baakusisinkana abantu ab’enjawulo okuva mu mawanga agatali gamu.
Mu nsissinkano yeemu, Dr. Maggie Kigozi nga kati yebuuzibwako mu kitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ku byenkulakulana by’amakolero ategezezza nga bwali omusanyufu nti abasikawutu abakyala nabo bajjumbidde.
Mungeri yeemu ssabaduumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala ategezezza nga bwebagenda okukwatagana ne minisitule y’ekikula ky’abantu okulongoosa enkambi ya Kaazi ssaako n’okulaba nti ebyokwerinda biba ggulugulu.