Skip to content Skip to footer

Omu afiiridde mu kabenje

Omuntu omu afiiridde mu kabenje ka motoka n’abalala 3 nebafuna ebisago ebyamanyi mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mubende okudda e Mityana .

Akabenje kano kagudde ku kyalo Kalembe mu gomboloola ye Kitenga Mubende motoka ekika kya Noah namba UAX 655A ng’eno ebadde eva Fort Portal ng’edda Kampala bw’etomedde omusajja abadde atambulira ku pikipiki ekika kya Meeti etabaddeko namba n’afiirawo.

Atwala poliisi y’ebiduka e Mubende Johnson Heyeho omugenzi amumenye nga Daudi Byamukama ng’ono abadde atamidde ate ng’abantu abasatu ababadde mu motoka eno okubadde Shaban Mukasa omutuuze we Entebbe , Joan Wabiomire ssaako ne Perry Nyakatula bamenyese emikono wamu n’okufuna ebisago ebyamanyi nga kati bawereddwa ebitanda mu ddwaliro ekkulu e Mubende gyebali mu kujanjabibwa nga n’omulambo gutwalidwa mu ggwanika e Mubende okusobola okwekebejjebwa

Leave a comment

0.0/5