Abavubi abakolera ku mwalo gwe Katosi gavumenti gw’ebadde yayimiriza olw’obucaafu n’obutabeera na mazzi mayonjo babugaanye essanyu, bweguguddwawo guddemu okukola.
Ekiragiro okugulawo omwalo kivudde mu ministry yobyobuvubi wabula nga bataddewo obukwakulizo ku ntambuza yemirimu ku mwalo guno.
Avunanyizibwa ku by’emirimu n’enkulaakulana ku disitulikiti ye Mukono Dr.Fred Mukulu akakasizza nti Ministule yalagidde omwalo guno guggulwewo guddemu okuyisibwako eby’ennyanja oluvanyuma lwokubaako byebatereza.
Mukulu asabye abavubi okukuuma obuyonja nateeka abakulira omwalo ku nninga batusizze abantu amazzi amayonjo kuba kyekimu ku byagazza omwalo.
Bawereddwa amateeka agagenda okugobererwa okukakasa nti bitambula bulungi.
Abavubi bagambye nti ngojjeeko bbo okukosebwa ng’omwalo gugaddwa naye ne gavumenti efiiriddwa ensimbi ezisoba mu bukadde 500