Skip to content Skip to footer

Omubaka Nsereko Na’balala Bayitiddwa Okukola Sitetimenti

Bya Kyeyune Moses

Police eyise omubaka wamasekati ga Kampala mu Parliament, Mohammad Nsereko ne banne abalala 3, bakole statement ku bigambibwa nti bakumye omuliro mu bantu.

Mu bbaluwa eyawandikiddwa Odong Mark Paul nga 15th September 2017, kulwa atwala okunonyereza ku buzzi bwemisango, omubaka Nsereko, owe Kumi Monica Amoding nowe Rwemiyaga Theodre Sekikubo batekeddwa okulabikako okukola statemnt.

Ebbaluwa eno waddenga teraga byamunda nnyo ku bibavunanibwa, eraga nti bano batekeddwa okubakunya, ku misango ejigambibwa nti gyekuusa kubyamawulire.

Waddenga bino byebabalanga bitankanibwa, kigambibwa bano bagenda kubavunaana olwebigambo byabwe jjolyabalamu bwebalayira okuwakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Leave a comment

0.0/5