Bya Ruth Anderah.
Kooti ejulirirwamu kyadaaki ekakasiza nga Pastor Peter ssematimba bwali omubaka omutuufu owa Busiro south nga ono aludde ebanga nga yeebiriga ne munna-DP Steven ssekigozi eyavuganya naye.
Kinajukirwa nti Ssematimba ono yeyadukira mu kooti eno oluvanyuma lw’omulamuzi Lydia Mugambe okusazaamu okulondebwakwe bweyakikakasa nti ono talina buyigirizze.
Kati omuwandiisi wa kooti Deo nzeyimana bwabadde asoma ensala y’abalamuzi abasatu abatuula ku kooti eno agambye nti ebitabo bya ssematimba tebiriiko kabuuza, kale nga talina nsonga lwaki avaayo.
