Skip to content Skip to footer

Omukyala asse bba

Woman kills dad

Poliisi e Kabale ekutte omukyala agambibwa okukuba bba enkumbi ku mutwe n’amutta

Bino bibadde ku kyaalo Rutakyengwa mu ggombolola ye Hamurwa

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate agambye nti omugenzi ategerekese nga  Keresensio Bigambo,ow’emyaka  48.

Yye omukyala agambibwa okumutta ye Asumputa Musimenta.

Kigambibwa okuba nti obuzibu bwonna buvudde ku nsimbi zebabadde batunda okuva mu taaba ng’omusajja azezza

Poliisi w’etuukidde ng’abatuuze ababadde bataamye obugo batandise okutaagula omukyala ono.

Leave a comment

0.0/5