Skip to content Skip to footer

Omulambo guzuuse

Itanda falls

Omulambo gw’omuwala eyabbira ku biyiriro bye Itanda kyaddaaki guzuuliddwa

Joan Uwimana Twizere munnamawulire era nga yeeyali ayogerera eddwaliro lye Mulago.

Twizere yabbira ku lunaku lwa Ssande bwebaali beekubisa ebifananyi nebakwano be bwebaali bagenze okulambula

Omu ku bakwano be Gertrude Tumusiime agamba nti omulambo guno guzuuliddwa ku ssaawa nga musanvu z’emisana

Omulambo guno kati gukwasiddwa abenganda ze abakulembeddwaamu maama w’omugenzi Abalulema Paskazia.

Leave a comment

0.0/5