Omulamuzi omukulu mu kkooti e Soroti ayimbudde omusawo w’ekikwangala eyakuba omukyala empiso y’omusujja n’asanyalala.
Justine Elangot alagiddwa okusasula emitwaoa 50 egy’obuliwo ate abamweyimiridde nebalagirwa okusasula obukadde butaano ebitali za buliwo
Elangot abadde mu kkomera e Soroti nga yakwatibwa omwezi oguwedde oluvanyuma lw’okukuba Janet Aiano empiso nakati gy’alojja
Omukyala ono empiso gyebaamukuba yasanyalaza ebinywa byonna mu mukono gwe era ekyaddirira kwekugutemako
Omusawo ono ayimbuddwa oluvanyuma lw’abenganda z’omukyala ono okukkiriza okuteesa n’omusawo abaliyirire
Omulamuzi omukulu owa kkooti Baker Rwatoro alagidde omusawo ono okusigala ng’agenda mu kkooti okutuuka ng’akakasizza nti emisango tegikyaali mu kkooti.