Skip to content Skip to footer

Omuyimbi Lutaaya amabanja gamuli mu bulago

Namatovu Lutaaya wed

Eby’omuyimbi Goeffrey Lutaaya ssi birungi n’akatono.

Waliwo omusuubuzi amukubye mu mbuga z’amateeka ng’amulanga kugaana kumusasula obukadde obusoba mu musanvu n’ekitundu

Lutaaya akyaali omugole amuwaabye ye Godfrey Kibalizi

Kibalizi agamba nti yawola Lutaaya ssente era nebakola endagaano naye akyagaanye okumusasula.

Aleese ne ne cheeque ezaamuweebwa Lutaaya okuva mu banka ya DFCU wabula ne zibuuka amacho

Lutaaya yali yasuubiza okusasula mu bitundu bya mirundi ena kyokka nga nga n’ekimu takiwangayo

Leave a comment

0.0/5