Skip to content Skip to footer

Omwoleso gwa Buganda gugguddwaawo

Kabaka arrives

Omwoleso gwa Buganda ogw’eby’obulambuzi gugguddwaawo mu butongole.

Abasuubuzi abenjawulo abantu ebintu omuli ebyokulya, ebyobuwangwa,ebisolo eby’omusiko byebigenda okwolesebwa okutuuka ng’enaku z’omwezi 1 omwezi ogujja.

Omwoleso guno gutandise n’okukumba  okuva ku masiro e Kasubi okukulembeddwamu minister wa Buganda ow’ebyobulambuzi Ritah Namyalo.

Bo abolesa mu mwoleso guno balina essubi nti omwoleso gwakubayamba okumanyisa eggwanga eby’amaguzi byabwe.

Ssabasajja Kabaka yasiimye dda okulabikako eri obuganda ng’aggalawo omwoleso guno ku lw’okubiri

Leave a comment

0.0/5