Skip to content Skip to footer

Palamenti enasiima Aronda

Palamenti  etaddewo olwokuna lwa ssabbiiti eno nga olunaku olw’enjawulo okukungubagira eyali ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Aronda Nyakairima.

Gen Aronda era abadde  omu ku bajaasi ba UPDF 10 abakiikirira amagye mu palamenti.

Atwala ebyamawulire bya palamenti  Hellen Kaweesa ategezezza nga entekateka bweziwedde okuzza omulambo gw’omugenzi.

Agamba omulambo gw’omugenzi gwakwanirizibwa ku palamenti sipiika yenyini, gukubibweko eriiso evvanyuma olwo  wategekebwe olutuula olw’enjawulo okujjukira ebirungi omugenzi by’akoledde eggwanga.

 

Omulambo gw’omugenzi gusubirwa okukomezebwawo  mu ggwanga olunaku lw’enkya.

Leave a comment

0.0/5