Poliisi kyaddaaki ekkiriza ab’ekibiina kya DP okugenda mu maaso n’olukungaana lwabwe lwebasoose okulinyamu eggere.
Gyebuvuddeko poliisi esoose kugaana lukungaana luno kugenda mu maaso oluvanyuma lwabamemba abasoba mu 100 okukungaanira wali ku Sharing Hall e Nsambya.
Aduumira poliisi ye Kabalagala Francis Chemusto y’ategezezza nga bwelubadde lumenya amateeka kubanga tebategezebwako.
Wabula ye ssentebe w’ekibiina kino wano mu Kampala Vincent Mayanja ategezezza nga bwebawandiikira ssabapoliisi w’eggwanga ennaku nga 10 emabega ku lukungaana luno naye tebafuna kuddibwamu.
Bano bakkiriziddwa okugenda mu maaso n’olukungaana luno oluvanyuma lw’okuleeta ebbaluwa gyebawandiikira ssabapoliisi.