Akakiiko ka palamenti akakola ku by’embalirira kagobye abakungu okuva mu KCCA nga bano babadde bagenze kusaba nti bongerweeyo obuwumbi musanvu
Ekibagobezza butajja na munnabyabufuzi yenna
Bano obuwumbi omusanvu zebeetaga za kuzimba katale ka USAFI
Bano nno okutuuka nga palamenti ky’ejje eyise obuwumbi 37 ez’okugula akatale keekamu
Amyuka akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi Judith Tusiime y’akulembeddemu ekibinja ekisaba ssente zebagamba nti zakusasula basuubuzi abali mu katale kano n’endala zikozesebwe mu kuzimba
Wabula abatuula ku kakiiko kano nga bakulembeddwaamu Geoffrey Ekanya bagambye nti tebasobola kuyisa nsimbi zino n’abalina okuzirondoola bannabyabufuzi tebaliiwo.
