Bya Ivan Ssenabulya
Polisi mu district ye Kapchorwa eriko omusajja gwegalidde nga kigambibwa nti, yye nabalala 5 bakakanye mu mukazi nebamusobyako ekirndi.
Omukwate nabalala kigambibwa nti bateeze omukazi omulwadde, eyabadde ava mu ddwaliro nebamukaka omukwano.
Okusinziira ku mwogezi wa polisi mu bitundu bye Sebei, abalala badduse nayenga omukwate omukazi yasobodde okumulaba.
Agambye nti okunonyererza kugenda mu maaso.