Kyaddaaki kkooti ekkirizza Robert Shaka okweyimirirwa oluvanyuma lw’ebbanga ku alimanda e Luzira ku musango gy’okuwandiika ebivvoola omukulembeze w’eggwanga ku mutimbagano gwa yintaneti.
Shaka alagiddwa asasule obukadde 2 ezabuliwo sso nga abamweyimiridde buli omu abadde wa bukadde 5 ezitali zabuliwo.
Wakudda mu kkooti nga 30th June okutandika okuwulira omusango gwe.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti wakati wa 2011 ne 2015, Shaka y’asasanya amawulire ku mutimbagano gwa yintaneti nga pulezidenti Museveni obulwadde bwebumunafuyizza nga akozesa erinya lya Tom Voltaire Okwalinga..