Bya Shamim Nateebwa
Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka R. Muwenda Mutebi 11, asasidde abantu abafiriddwa abaabwe mu kabenje ku Nyanja Nalubaale.
Ssabasajja agambye nti abantu okucakala mungeri ennungi, bewale ebitamiiza omuli omwenge nenjaga gyebafuweeta kubanga bino byombi biremessa omuntu okusalawo amangu ekyokukola, atenga kiba na kizbu okwetaasa mu mbeera ensibu.
Bino bibadde mu bubaka bwe obwokukungubaga, ngasabye ebitongole ebikwatibwako okulongoosa entambula yoku mazzi.
Magulunyondo asaasidde abafiriiridwa abaabwe nabakosedwa, kyokka neyebazza Katonda eyawonnyezza abamu kwabo ababadde beesanyusaamu, ku lyato lino.
Kinajjukirwa nti ku lyato lino kwekwabadde omulangira David Wasajja, nga naye kawonawo.