
Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye eddiini y’obuyisiraamu okulemberamu okusaba mu lubiri e Mengo nge naku zomwezi 24/5 omwaka guno nga bajjukira nga bwejiweze emyaka 51 bukya Dr Milton Obote alumba olubiri olwe Mengo .
Entekateka eno eyanjuliddwa minister webyobuwangwa nennono mu bwakabaka bwa Buganda Owek.Denis walusimbi mu yaffesi ya supreme mufti e kibuli .
Ow’ekitibwa Ssengendo agambye nga olunaku luno bweluli olw’omuwendo kuba lujjukiza ebyaliiwo nga era sikukungubaga kwoka kubanga mwalimu ne sekabaka Muteesa 2 okusimattuka okuttibwa ekintu kyebalina okujaguza nga obuganda
Ate ye Supreme mufti wa Uganda sheikh Siliman kasule Ndilangwa yebaziiza beene olw’okusiima n’abawa omukisa era nti okusaba kuno kugenda kunyweza obwakabaka nga kwossa n’okuyamba obuganda mu kugenda mu maaso n’entekateka zabwo .
Ono akakasiza nga omukolo bwegugenda okubeera ogwekitibwa kubanga wakukowola abasiraamu bonna wamu nabantu abalala mu ggwanga wamu nemubwakaabaka okwetaba mukusaba kuno .
Kati guno mulundi gwamukaaga bukyanga beene asiima okujukira olunaku luno era nga buli mwaka waberawo eddini j’aba asiimye okulaba nga balujjukira buli mwaka.