
Taata asuddewo abaana be 6 oluvanyuma lwa mukyala we okufa n’agenda ku bizinga nafuna omulala.
Derick Mulimira omutuuze we Kirangira Mukono omuvubi ku mwalo gwe koome yasuddewo abaana be.
Kati omwana omukulu Rebecca Bukirwa owemyaka 10 asoma ekibiina eky’okubiri ku ssomero lya Nabbaale P/S yalabirira baana banne 5 okuli Ibrahim Katuma owemyaka 6, Sarah Namagembe 4, Smart Maweje omwaka 1
nekitundu, Scovia Nawanje myaka 7 ne Mega Kirabo owemyezi 7.
Maama wa baana bano Rose Nabulime abadde yakajja afire mu kabenje bweyatomerwa emmotoka mu kiromu kibuga kye Mukono bweyali agenda okusubula ekigere kyeyalinga afumba.
Mu kaseera kanoabaana batubidde ku ssomero nga nabakulu be ssomero basobeddwa.
Abakulu be ssomero baddukidde ku poliisi okuyambibwa.
Kati poliisi abaana 3 ku bano batwaliddwa e Naguru Reception Center okujira nga balabirirwa eyo.
Twogeddeko nomwana omukulu Bukirwa.