
Poliisi ye Kasese eriko paasita gwekutte lwakugezaako kukwata muwala ow’emyaka 19 myezi mitono nga kyaggye ave mu kkomera olw’omusango gw’okusobya ku mwana.
Paasita ono atayatukiriziddwa manya yakwatiddwa mu loogi ye Jeriza e Kasese.
Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Kasese Joseph Andama agamba omusajja ono yayimbulwa ku kakalu ka poliisi nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Wabula paasita ono awonye oluvanyuma lw’okukebera omuwala gweyabadde agenda okukwata nga alina siriimu sso nga ye talina.