
Mu disitulikiti ye Bundibugyo amasomero 6 n’okutuusa kati maggale olw’abasomesa n’abayizi okugaana okuddamu okusoma oluvanyuma lw’obutabanguko mu kitundu kino.
Oluvanyuma lw’okulonda waaliwo okutingana mu mawanga nga era bangi bekukuma.
Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno Pastor Bamwitirebye Peter agamba abayizi bangi bakyali mu kambi z’ababundabunda nga n’abasomesa aba Konzo ababadde basomesa a Bamba baagala kukyusibwa batwalibwe mu masomero amalala.
Amasomero agakyagaddwa kuliko Butukuru primary school, Bundikeki, Kirumya Muslim School, Bundibuturo n’amalala mu gombolola ya Bamba.