
Akakiiko k’ebyokulonda kaweze okuziyiza obubinja by’abakubi b’emiggo okwenyigira mu ntekateka z’okulonda.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga Eng Badru Kiggundu agambye nti bamazze dda okufuna amawulire agalaga nti waliwo abamu ku besimbyewo abatandise okutendeka obubinja obungenda okutabangula okulonda.
Kiggundu agambye poliisi yokka yegenda okukirizibwa okukuuma okulonda.
Mungeri yemu Kigundu agambye nti ebibiina by’obufuzi wamu n’abantu abesimbyewo kulwabwe bakukirizibwa okuteeka abantu 5 mu buli gombolola.
Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde ng’okusunsula abagenda okwesimbawo ku bwa pulezidenti bwekwongezeddwayo okutuuka nga 3 ne 4 Omwezi ogujja.
Ate byo ebibiina by’obwanakyewa biraze obutali bumativu olw’ensimbi enyingi ezigenda okusasulwa abagala okwesimbawo.
Mu mateeka g’ebyokulonda amajja, abagala okwesimbawo ku bubaka bwa parliament bakusasula obukadde 3 okuva ku mitwalo 20, ate abagala okwesimbawo ku bwa president okusasula obukadde 20 okuva ku bukadde 8.
Omukwanaganya w’emirimu mu kitongole kya Citizens’ Coalition for Electoral Democracy Crispy Kaheru agambye nti kigenda kulemesa bana uganda abaavu naye ngabalina embavu okwesimbawo.