Ababaka ba palamenti abakyala bavuddeyo ku basajja abagufudde omuze okwambula abakyala mbu bambadde enkunamyo
Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano nga bakulembeddwaamu abakulira Betty Amongi bagambye nti akategeezebwa ku bakyala 3 abakambulwa
Amyuka abakulira Grace Nyakikongolo agamba nti etteeka ku buseegu naddala akawaayiro akoogera ku nkunamyo kirabika lyayisibwa mu bwangu
Ono agamba nti kikyaamu etteeka lyona okuba nga litunuulira ekikula kimi