Skip to content Skip to footer

Tumwebaze tannawummuzibwa ku bwa minisita-Gavumenti

Tumwebaze fresg

Gavumenti esabuludde engambo ezibadde ziyitingana nti minisita akola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga Frank Tumwebaze yawummuziddwa

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwaawo , minisita akola ku byobukuumi Muruuli Mukasa agambye nti Tumwebaze yagenze mu kuwummulako era teri amunonyerezaako

Kiddiridde emikutu egitali gimu okutegeeza nga Tumwebaze bweyawummuziddwa ku bwa minisita wa kampala nga bw’anonyerezebwaako ku bigambibwa nti waliwo obuwumbi 10 obwasangibwa ku akawunta ye mu ngeri etategerekeka

Muruuli agambye nti mukadde kano Tumwebaze ali Kamwenge kyokka nga wakudda mu wofiisi nga 2 omwezi ogujja

Ono avumiridde b’ayise abaseketerezi b’agambye nti bakozesezza bubi emikutu gy’omutimbagano.

Leave a comment

0.0/5