Amawulire
Gen Elly Tumwine afudde kirwadde kya Kookolo
Bya Rita Kemigisa ne Mike Sebalu, Omukulembeze w’eggwanga YK Museveni akungubagidde musajja we Gen Elly Tumwine afudde enkya leero mu dwaliro LYA Aghakhan e Nairobi. Gen Elly Tuwmine 68, General ow’amayinja 4, awerezza mu bifo eby’enjawulo okuva Government eno lweyjja mu bukulembeze. Government ebadde tenavvayo […]
Uganda eribulindaala okulwanyisa Ebola
Bya Rita Kemigisa, Minisitule y’eby’obulamu esabye bannauganda okwongera okwegendereza obulwadde bwa Ebola oluvannyuma lw’ekirwadde kino okuddamu okulabikako mu ggwanga lya DR Congo eriri ku muliraano. Bwabadde ayogerako ne KFM, omwogezi wa minisitule eno Emmanuel Ainebyona agamba nti eggwanga lirina obumanyirivu bungi mu kukwata endwadde ezibalukawo […]
Abalamuzi abapya balabuddwa
Bya Ruth Anderah, Akulira abalamuzi Flavian Nzeija alabudde abalamuzi abapya abalondeddwa ku bikorwa eby’okutattana ekifananyi ky’essiga eddamuzi naddala nga bali mu buweereza obubakwasiddwa. Ng’ayogerako eri abalamuzi abali eyo mu 40 mu kiseera kino abali mu kubangurwa wali mu bitundu by’e Mukono, Nzeija ategeezezza nga ebikorwa […]
Abakuumi 2 basindikiddwa mu Komera lwa bubbi
Bya Ruth Anderah, Kkooti ey’okuluguudo Buganda wano mu Kampala eriko abakuumi 2 okuva mu kampuni ya Tight Security wali e Rubaga besindise mu mbuzi ekogga lwakukizuula nti baalina omukono mu bubbi bwebizimbisibwa ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 5 byebalinako obuvunanyizibwa okubikuuma. Omulamuzi Asuman Muhumuza, yaasingisizza Lirra Erris […]
Abavubuka basabiddwa okukyusa endowooza baganyulwe mu PDM
Bya Prossy Kisakye, Minisitule ey’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’abantu esabye abakulembeze ba bavubuka okukyusa obwongo bw’abavubuka mu nteekateeka z’okulowooza ezigendereddwamu okubateekateeka okwenyigira mu enkola ya Parish Development Model (PDM) . Bino byogeddwa minisita ow’ensonga z’abavubuka n’abaana, Sarah Mateke, bwabadde ayogera eri bannamawulire wakati mu kwetegekera […]
Bannakyewa bazemu okusaba Gavt ku bakola Omwenge
Bya Benjamin Jumbe, Ebibiina by’obwannakyewa ebiwakanya okukozesa omwenge bizzeemu okusaba gavumenti okwanguya etteeka erigenda okulungamya n’okufuga eby’okukola Omwenge Kino kiddiridde abantu okunywa waragi alimu ekirungo kyo butwa mu disitulikiti y’e Arua ekyalese abantu 14 ngabafudde. Bweyabadde ayanja ensonga eno ku mwaliiro gwa palamenti eggulo omubaka […]
Muleya alabudde kubyokufuna amagoba mu Uganda Airlines
Bya Prossy Kisakye, Eyali akulira kkampuni y’ennyonyi eya Uganda National Airlines, Cornwell Muleya alabudde nti Bannayuganda bakwerabira kkampuni yennyonyi ey’eggwanga okukola amagoba okutuusa nga wabaddewo enkyukakyuka nokuteeka munkola pulaani eyabagibwa nga kampuni eno ezukizibwa. Okulabula kuno akukoze bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku […]
Gavt etandise okunonyereza ku bafudde Waragi
Bya Rita Kemigisa, Minisita avunaanyizibwa ku by’amakolero, David Bahati ategezeza ababaka ba palamenti nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso okuzuula ekirungo ekyabadde ku mwenge ogwasse abantu 14 mu disitulikiti yé Arua. Kino kiddiridde omubaka wa Arua ow’amasekkati Jackson Atima okutegeeza palamenti ku bantu 14 abafudde n’abalala […]
Abakulembeze mu DP balabuddwa ku byomukago gwa Mao
Bya Prossy Kisakye, Ekiwayi kya Democratic Party (DP) ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti nga kikulemberwa Dr Lulume Bayiga balabudde abakulembeze b’ekibiina kino obutakkiriza nguzi etegekeddwa okubaweebwa ya obuwumbi bwa Shs3 okusobola okukakasa endagaano y’okukolagana wakati wa DP ne gavt ya NRM. Bwabadde ayogera eri bannamawulire […]
Katikkiro afundikidde obugenyibwe mu Scandinavia
Bya Prossy Kisakye, Katikkiro akomekkerezza olugendo lwe olw’okulambula abantu ba Kabaka mu bitundu eby’e Scandinavia n’ekijjulo ekyamutegekeddwa olukiiko lw’omubaka wa Kabaka, Owek. Nelson Mugenyi. Mu bubaka bw’atisse Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Katikkiro yeebazizza nnyo Omubaka wa Kabaka mu […]