Amawulire
Bwanika asabye bannakyewa okulwanirira bannamawulire ku ddembe lyabwe
Bya Prossy Kisakye, Ssentebe wa district ye wakiso Matia Lwanga Bwanika avuddeyo n’asaba bannakyewa abatakabanira eddembe ly’obuntu okulaba nga eddembe Lya bannamawulire likuumibwa butiribiri kubanga bano bebokka abasobola okutaasa eddembe lyabalala. Okwogera bino asinzidde Nansana mu musomo ogwa tegekeddwa akakiiko ka disitulikiti akavunanyizibwa ku ddembe lyobuntu […]
Omugoba wa Bodaboda attibbwa mu bukambwe e Kaliro
Bya Abubaker Kirunda, Omugoba wa bodaboda mu disitulikiti ye Kaliro attibbwa abantu abatanategerekeka, ne bakuuliita ne pikiye. Omugenzi ye Sadat Wako abadde akuvugira ku siteegi ya Bakuseka majja mu Kaliro Town Council nga mutuuze ku kyalo Nabitende. Ssentebe wa siteegi eno, Moses Bazimbe, agambye nti […]
Katikkiro wa Tooro alekulidde
Bya Rita Kemigisa, Obukama bwa Tooro bukakasizza okulekulira kwa Ssaabaminisita waabwe Bernard Tungwako. Okusinziira ku minisita omubeezi ow’ebyamawulire mu bukama buno Vicent Mugume, Tungwako yakola ebbaluwa eyokulekulirakwe nga August 20th. Okusinziira ku Mugume, Ssaabaminisita alaga mu bbaluwa ye nti yali aweereddwa omulimu gw’eggwanga era bwatyo […]
KCCA ewera okulwanyisa abasibye abaana kunguudo
Bya Mike Sebalu Ab’obuyinza mu kitongole kya Kampala Capital City Authority baweze okugenda mu maaso n’okukwata abantu abakulu abayingiza abaana mu bikolwa ebimenya amateeka ku nguudo z’ekibuga okutuusa nga omuze guno guweddewo Mu nkola empya, KCCA kati etandise okukwata abantu ssekinoomu abateeberezebwa okuba nga bawagira […]
Abavubuka bagala Gavt ebongeze omutemwa kunsimbi za PDM
Bya Prossy Kisakye, Nga Uganda ejaguza olunaku lw’abavubuka olwaleero, abamu ku bavubuka okuva mu kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement, basabye gavumenti okwongera ku mugabo gw’abavubuka mu nsawo ya Parish Development Model. Okusinziira ku gavumenti abavubuka balina omugabo ogw’ebitundu 30% ku nsimbi zonna […]
Ssabalabirizi ayagala abaweereza ba katonda okuteeka essira ku Maka
Bya Kiguli Diphas, Ssabalabirizi w’ekaniisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ayagala essira abawereeza ba Katonda bongere okulisimba ku makka wamu n’omwana omulenzi nti kubanga obutabanguko busuuse ensangi zino mu makka ate nti n’ebanga ddene essiira litereddwa ku mwana muwala omulenzi nasigala ettale kyokka […]
Palamenti ekungubagidde Gen Tumwine
Bya Rita Kemigisa, Palamenti ekungubagidde abadde minisita owebyokwerinda, Gen Elly Tumwine, eyafudde ku makya ga leero e Nairobi mu ggwanga erya Kenya. Minisita w’ebyokwerinda, Jim Muhwezi ategeezezza ababaka ba palamenti nti enteekateeka zitandise okuzza omulambo gwa Gen Tumwine nóluvanyuma bayise pulogulamu eyo okuziika mu bbanga […]
Gavt yeyamye okwongera okutumbula enkulakulana yábakyala
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti yeewaddeyo okutumbula abakyala okusobola okutumbula enkulaakulana mu by’enfuna. Bwabadde awa obubaka bw’omumyuka wa pulezidenti mu lukung’aana lwa COMESA Women in business trade affair and business conference olw’omulundi ogw’okusatu ku Uganda museum mu Kampala, minisita w’ekikula ky’abantu, Betty Amongi agambye nti waliwo […]
Poliisi ewenja omusajja asse mukyalawe nábaana e Wakiso
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi e Wakiso etandise okunoonyeereza ku musajja agambibwa okutiriimbula mukyalawe n’abaana babwe n’oluvanyuma bano nabaziika. Bino biddiridde maama w’abaana bano okugezaako okubasuulawo agende akube ekyeyo emitala w’amayanja. Ku baana basse omukulu abadde wa myaka 2 n’omulala abadde wa myeezi 3 gyokka egy’okubukulu. […]
Omukago gwa Bulaaya gukubye Uganda enkata ya buwumbi 15 n’obukadde 200
Bya Mike Sebalu, Omukago gwa Bulaaya ogwa European Union guliko obuwumbi bw’ensimbi obwenyongereza obuli eyo mu buwumbi 15 n’obukadde 200 gwebwongedde Uganda ziyambeko okuduukilir aobwetaavu bw’abantu ababundabunda abava ku muliraano mu gwanga lya DRC. Ensimbi zino era zigenda kuyambako n’okukola ku kizibu ky’enjala eri mu […]