Amawulire
Gavt eyongedde okulabula amasomero agaaddumudde ebisale
Bya Moses Ndaye, Government ng’eyita mu Ministry yaayo ey’eby’enjigiriza eyongedde okukakasa nga bwegenda okukangavvula abakulembeze b’amasomero bonna abanetantala nebalinyisa ebisale by’abayizi nga tebasoose kufuna kwebuuza nakukkirizibwa Ministry ekwatibwako. Wabula okulabula kuno wekujidde nga mangi ku masomero gaamaze dda okufulumya emiwendo gy’ebisale ebijja abazadde byabalina okusasula […]
Abakugu mu byóbulamu e Mityana batiddemu
Bya Barbara Nalweyiso, Abakugu era abavunanyizibwa mu kulwanyisa ekilwadde ki Covid-19 mu district ye Mityana balina okutya olw’abantu abasuula edda omuguluka ensonga ezikwata kukwegemesa n’okwetangira ekilwadde ki covid -19 ekintu ekiyinza okuviilamu ekilwadde kino okuddamu okwegiriisiza mu banna Mityana. E Mityana ebibalo bilaga nti abantu […]
Mao asabye ebitongole bya gavt okukoppa esiga eddamuzi
Bya Ruth Anderah, Minister avunanyizibwa ku by’amateeka n’ensonga za Ssemateeka ayagala ebitongole bya Government okutwala eky’okulabira eky’e ssiga eddamuzi okulaga ebyo ebibeera bikoleddwa mu nsimbi ezibawebwa ate mu budde. Minister Norbert Mao agamba nti eky’okuzimbibwa kw’ekitebe ky’essiga eddamuzi mu budde obutono obwagerekerwa ate nga mutindo […]
Sipiika akangudde ku ddoboozi eri ababaka abeebalama entuula
Bya Benjamin Jumbe, Sipiika wa Palamenti Anita Among alagidde offiisi ya Parliament ekwatibwako okutandika okuwa ababaka abayitirizza obutatula mu nteesa za Parliament amabaluwa agabalamu. Ono ela asabye ba sentebe b’obukiiko mu bwangu okuuwereza amannya g’ababaka abatatuulayo n’oluvanyuma basalewo bano eky’okubakolera. akangudde ku doboozi nategeeza nga […]
Palamenti eyisiza ebbago lyétteeka ku Butujju
Bya Prossy Kisakye, Parliament leero eyisiza ebbago lye teeka ku butujju erya Anti-Terrorism (Amendment) bill 2022 nókulabula eri gavt obutalikozesa kutulugunya abali ku ludda oluvuganya. Ebbago lino ligenderedde ku nyweeza mateeka kubeeyambisa ensimbi mu mungeri emenya amateeka, naddala mu kuvugirira ebikolwa ebyobutujju. Anasingisibwa omusango mu […]
Museveni akungubagidde Gen Tumwine
Bya Juliet Nalwooga, Omuk weggwanga Museveni asabye abakungubazi eri omugenzi gen Elly Tumwine okwewala ekibi wabula bakkiririze mu katonda. Bino abyogedde wakati mu kusabira omwoyo gwomugenzi Tumwine eyafa mu ssabiiti ewedde mu ggwanga lya kenya mu ddwaliro lya aghakan gyeyali afuna obujanjabi. Museveni ayogedde ku […]
Abazadde basabiddwa okuwagira abaana babwe
Bya Benjamin Jumbe, Ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abaana n’obulamu obulungi bisabye abazadde n’abakwatibwako ensonga okuwa obuwagizi abaana abakyali mu masomero. Bino okuvaayo byebiti nga ebbula mbale taamu ey’okusatu etandike. Okusinziira ku minisitule y’ebyenjigiriza, abayizi bonna basuubirwa okudda ku masomero ku Mmande ejja nga 5th September. Omukwanaganya […]
Omukazi atemyetemye abaanabe 3 nabatta
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi mu disitulikiti y’e Hoima eriko mama gwegalidde mu kaddukulu ku bigambibwa nti yatemyetemye abaanabe 3, ejjambiya okutuusa lweyabase. Ku bano kubaddeko owemyaka 5, 3 ne 11. Kigambibwa nti omukyala ono ow’emyaka 33 yabadde yakadda mu maka ga bazaddebe e Kinogonzi mugombolola […]
Kawefube ku kutaasa obutonde ayongedwamu amaanyi
Bya Benjamin Jumbe, Akola nga dayirekita avunaanyizibwa ku nsonga z’obutonde bw’ensi mu minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi Stephen Mugabi asabye abantu ssekinnoomu ne kkampuni okwegatta ku kaweefube w’okuzzaawo obutonde bw’ensi Omulanga guno agukoze bwabadde atongoza enteekateeka eyokusimba emiti eyambe mu kuzaawo ebibira Enteekateeka eno eyambibwako ekitongole […]
Tayebwa asabye bannekolera gaynge ku musujja
Bya Juliet Nalwooga, Amyuka Sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa asabye bannekolera gyange mu Uganda okussa ssente mu kukola ebintu ebirwanyisa omusujja gw’ensiri wano mu ggwanga mu kawefube wokulwanyisa omusujja gwensiri Okwogera bino yabadde ayogera eri ababaka ba Palamenti abava mu West Nile mu kwetegekera okutongoza […]