Amawulire

Otafire atabukidde bannamawulire

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Mininista akola ku by’amateeka  Gen Kahinda Otafiire atabukidde  bannamawulire abalondoola eyabadde ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi okutuuka mu bulamu bwe obwabulijjo.   Otafiire ategezezza nga bannamawulire kati bwebatakyasaka mawulire ga mazima ku Mbabazi okugyako okumuyiganya.   Agamba n’abakozi ba gavumenti balina eddembe okubeera mu bulamu bwabwe […]

Omukulembeze wa Zambia afudde

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Zambia  Michael Sata afudde. ono afudde ekirwadde ekitanategerekeka ekibadde kimubala embiriizi okumala akaseera. Amawulire mu Zambia galaga nga Sta bweyafudde ku lwokubiri ekiro. Tekinamanyika ani agenda okudda mu bigere by’omugenzi wabula nga kabineti essaawa yonna etuula okulaba ekyokukola. ku ntandikwa y’omwaka guno […]

Karamoja batutte bakibogwe

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Yadde ng’omuntu okwegatta ku maggye alina kubeera n’ebbaluwa ya siniya y’okuna , e Karamoja okusinga batutte baawanduka mu p6 ne p7 mu kuwandiisa abayingira amaggye okwakaggwa. Eyakuliddemu okuwandiisa abantu bano  Col. John Waswa ategezezza nga bwebalemereddwa okufuna abalina obuyigirize obwetagisa kwekusalawo bwebatyo okwewala ekitundu kya […]

Abe Somalia bafunye omukulu omuggya

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Amaggye ga Uganda mu Somalia gafunye omuduumizi omuggya. Omwogezi w’omukago guno Major Deo Akiiki agamba nti Col. Frank Kyambadde y’azze mu bigera bya Brig. Dick Olum. Akiiki agamba nti Col Kyambadde wakukulira kibinja kya 14 ekituuse mu Somalia enkya ya leero.

Aba Palamenti basanyukidde omusika wa Kagina

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baniirizza omukulembeze w’ekitongole ekiwooza omuggya era nga bagamba nti bamulinamu essuubi ppitirivu Doris Akol yasikidde Allen Kagina abadde yakabeera mu kifo kino okumala emyaka 10. Akol yawereddwa ekisanja kya  myaka ena era nga bamusuubira okugaziya ensulo z’omusolo okutuuka ku busiriivu […]

Poliisi ekyanonyereza ku wa sipeya eyatta abantu

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Okunonyereza ku musuubuzi wa sipeeya eyatta abantu babiri mu Ndeeba kukyagenda mu maaso. Godfrey Muhirwa avunaanibwa gwakukuba abantu babiri amasasi n’abattirawo ng’abalanga kugezaako kumutta. Omuwaabi wa gavumenti Beatrice Alok ategeezezza omulamuzi wa kkooti ye Makindye George Watyekere nti bakyanonyereza ku mugagga ono. Muhirwa abantu beyatta […]

Bannayuganda besunga paapa

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

.Bannayuganda batandise dda okwesunga okukyala kwa paapa omwaka ogujja Olunaku lwajjo paapa yategeezezza nga bweyesunga okujja mu Yuganda nga bino yabyogedde asisinkanye omukulembeze w’eggwanga. Ababaka ba palamenti beebasoose okwaniriza ekyasaliddwaawo paapa nga bagamba nti paapa ajja n’emikisa Twogeddeko n’ababaka Medard Ssegona, Margaret Kiboijana ne Joseph […]

Gavumenti ebanjibwa obuwumbi 116 mu masanyalaze

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Gavumenti ebanjibwa obuwumbi 116 mu masanyalaze Ensimbi zino zeeyongedde okuva ku buwumbi 89 omwaka oguwedde Minisitule ekola ku by’okwerinda yeeyakasinga obutasasula masanyalaze ng’ebanjibwa obuwumbi 54. Poliisi y’eddako awo ng’ebanjibwa obuwumbi 26 ate ab’amakomera babanjibwa obuwumbi 15 Ebitongole bya gavumenti ebirala ng’obigasse bibanjibwa obuwumbi 17 Wabula […]

Omuliro gukutte essomero

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Ebintu bya bukadde bisaanyewo mu nabambulira w’omuliro akutte essomero lya  St Charles Lwanga secondary school e kalungu. Omuliro guno gukutte ekisulo ky’abawala abali eyo mu 200 nga musulamu ba s1,s2,s3, ne s5 nga era bakazi battu batunudde butunuzi nga ebintu byabwe biggwawo. Omukulu w’essomero lino […]

Bannamawulire babanja

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Bananyini mikutu gy’amawulire batiisizza okukuba gavumenti mu mbuga z’amateeka lwakulemererwa kubasasula ku by’okukunga abantu okujumbira okwewandiisa okufuna endagamuntu okwakaggwa. Ssentebe w’ekibiina ekigatta bananyini mikutu gino  Azim Tharawi ategezezza nga bwebazze batuukirira omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ensonga z’omunda w’eggwanga n’abalala abakwatibwako okubasasula nga mpaawo kavaayo. Ono […]