Amawulire
Doris Akol asikidde Kagina
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority olwaleero kifunye omukulembeze omuggua Doris Akol azze mu kifo kya Allen Kagina akulmbedde ekitongole kino okumala emyaka 10. Ono ayanjuddwa minisita w’ebyensimbi eri bannamawulire amakya galeero. Okutuuka wano Akol abadde muwandiisi ku lukiiko lwe kitongole kino, era nga aweereddwa […]
Zebulakulosingi-abazinyooma bakukwatibwa
Poliisi egenda kutandika okukwata emmotoka zonna ne pikipiki ezitassa kitiibwa mu Zebra Crossing Kiddiridde obubenje obuyitiridde mu bifo ebyenjawulo bino ebisalibwaamu ng’abantu nebwebabituukamu, basigala bavulumula emmotoka Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti abapoliisi bonna bamaze okulagirwa okukwata abo bonna abattaasa kitiibwa […]
Paapa ajja omwaka Gujja- Musumba bamukunya
Paapa Francis amaze okukakasa nga bw’ajja okukyala mu Uganda omwaka ogujja Paapa asuubirwa kwetaba ku mikolo gy’abajulizi omwaka ogujja e Namugongo nga Eklezia erangirira nga bwegiweza emyaka ataano bukyanga balangirirwa mu lubu lw’abeesiimu. Paapa okukakasa abadde asisinkanyeemu pulezidenti Museveni mu kibuga Vatican Ekiwandiiko ekifulumiziddwa ofiisi […]
Mukomye enkayaana mu bika- Katikkiro
Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga alabudde abakulu b’ebika okwewala okutondawo ennono wamu n’obukulembeze obutagoberera bwa buwangwa bwa Buganda. Katikiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda E mengo,gy’asinzidde n’ategeeza abakulu b’ebika nti Ssabasajja Kabaka yasalawo eky’enkomeredde ku bukulembeze bw’ebika. Katikiro agamba nti abakyalina […]
Siriimu mungi mu bavubuka
Kizuuliddwa nti abantu 70% abakwatibwa ekirwadde kya siriimu bavubuka. Okusinzira ku kunonyereza, sirimu asaasanira ku bitundu 4.2% ku bawala okusinga ku balenzi abali wakati w’emyaka 15- 35. Wano minisitule y’ebyobulamu n’ekitongole kya Uganda Aids Commission webasinzidde nebatongoza kawefube w’okusasanya obubaka obuggya obw’okulwanyisa siriimu mu bavubuka. […]
Kananura yegaanye emisango
Omusuubuuzi w’erinnya Andrew Desh Kananura yeeganye emisango gy’ettemu egimuvunaanibwa Kananura ng’ali wamu ne muganda we Raymond Kananura balabiseeko mu maaso g’omulamuzi we Nakawa Masalu Musene n’abasomera emisango. Omulamuzi wabula omusango agwongezezzaayo okutuuka ku lw’okuna luno okuguwulira lwekugenda okujjibwaako akawuuwo Kananura avunaanibwa kukuba mukozi weku baala […]
Abazigu balumbye essinzizo
Poliisi e Lyantonde eli ku muyiggo gw’abazigu ba nkuyege tetya ssabo abalumbye kkanisa nebakuulita n’ebirabo Ekibinja ky’abazigu bano kyalumbye eklezia ya Kijukizo Parish nebatwaala emizindaala, engoma, evviinyo n’ebirabo nga byonna bibalirirwaamu obukadde mukaaga Bwanamukulu w’ekigo kino Rev. Fr. Venasio Kivumbi agambye nti kibaweddeko bwebaguddewo enkya […]
Abakozi ba Daily Monitor balongosezza eddwaliro lye Kisubi
Mu nkola ey’okuddiza abantu, abakozi mu kkampuni ya Monitor olwaleero balongosezza edwaliro lye Kisubi Hospital Entebbe road. Abakozi bano balongosezza waadi empya omugenda okudda abalwadde abamu nga kw’otadde n’okugabira abazadde n’abaana amata ga Mega Milk n’omugaati gwa Superloaf Atwala eddwaliro lino Doctor Robert Asaba asiimye […]
Ekikulukuto kikyaaliwo
Abantu abalina obulwadde bwa Fisitula bakumalibwa mu myaka 80 egijja ssinga tewabaawo kikyuuka Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr. Elioda Tumwesigye agamba nti abakyala emitwalo 20 beebalina obulwadde buno obwekikulukuto nga ku bano bakalongoosaako abakyala enkumi bbiri mu bitaano. Minisita agamba nti eggwanga lirina abasawo […]
Pistorious ajulidde
Bannamateeka ba Oscar Pistorius bategeezezza nga bwebagenda okujulira ensalawo ya kkooti mu musango gw’omuntu waabwe Bawakanya eky’okumusingisa omusango n’ekibonerezo ekyamuweebwa Ssabbiiti ewedde, Pistoruius yaweebwa ekibonerezo kya myaka etaano mu kkomera lwakutta muganzi we mu butanwa era nga wakubeera mu kkomera okumala emyezi kkumi , ebbanga […]