Gavumenti yetondedde akulira abakyaala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe olwabaserikale ba poliisi abaamunyiga ebbeere.
Poliisi yanyiga Turinawe ebbeere n’okwonona emmotokaye bwebaali bamukwata mu April wa 2012 wali e Nansana.
Munnamateeka wa gavumenti George Kalemeera ategezezza kkooti enkulu nga ekikolwa kino bwekyali ekibi era ekiswaza eri mukyaala Turinawe nga era n’asaba ensonga bazimalire wabweru wa kkooti.
Turinawe y’awaaba…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye olukiiko lwa Buganda okutandika okwekenenya ebituukiddwako okuva omwaka oguwedde mu alipoota namutayiika gyeyalangirira eri obuganda.
Gyebuvuddeko Ssabasajja azze akubiriza olukiiko obutayisa buyisa biteeso wabula byonna bitekebwe mu nkola.
Mayiga era asabye poliisi okwongera amaanyi mu kunonyereza ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga naddala mu bitundu bye Mpigi, Kabula n’ebitundu ebirala.
Bino…
Gavumenti ya Misiri erangiridde akaseera akakasigizigi mu ssaza lye Sinai oluvanyuma lw’abajaasi 31 okufiira mu bulumbaganyi bwamirundu 2 mu kitundu kino.
Omukulembeze wa Misiri Abdul Fattah al-Sisi alangiridde enaku 3 ezokukungubagira abajaasi abafiridde mu bulumbaganyi buno.
Government era egaddewo ekitundu kya Rafah ekiyingira mu luwananda lwe Gaza.
Buno bwebulumbaganyi obukyasinze okuba obw’amaanyi mu ggwanga lino, obukoleddwa ku bajaasi…
Ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya National social security fund kyenyamidde olw’omukyala ayettidde ku ofiisi zaakyo olwaleero
Omukyala ono ategerekese nga Annet Ashabanga we sembabule abuse kuva ku mwaliro gwe 14th ku kizimbe kya Knight Frank n’afiirawo
Ekiwandiiko ekivudde mu NSSF kigamba nti Ashaba awaddeyo paasipoota ye ng’abagenyi abalala era nebamukkiriza okunyingira .
Omukyala ono awalampye okutuuka ku mwaliro…
Omuyimbi wa Kadongokamu Abdul Mulaasi kyaddaaki ayimbuddwa
Kiddiridde Mulaasi ono okusasula obukadde obuna bweyewola ku yali mukwano gwe John Kabanda
Kabanda yatwala mulaasi mu kkomera era omusango negumusinga era bw’atyo n’alagirwa okusasula
Ono olunaku lwajjo bamusindise e Luzira yebakeyo emyeezi mukaaga olw’okulemererwa okusasula.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Mohammed Kasakya yeeyalagidde mulaasi agende e Luzira
Okumukwata bamujje mu maka ge…
Enkayaana eziri mu kibiina kya FDC zikyagenda mu maaso ng’abakulembeze ab’okuntikko basongeddwaako okuzikumamu omuliro.
Eyali omuwanika wa FDC Jack Sabiiti awakanyizza ebigambibwa nti yalekulira ekifo kye byona n’abissa mu bamulwana
SSabiiti ewedde, amawulire agava mu FDC gaalaga nga Ssabbiiti bweyali alekulidde ne Mukama we Nandala Mafaabi
Wabula ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Ssabbiiti agambye nti bino byonna bizanyibwa…
Wabaddewo akassatiro ku ddwaliro ly’e Bukuya mu district ye Mubende,oluvanyuma lw’omu ku balwadde okufa n’obubonero obwefananyizaako obw’ekirwadde kya Marburg.
Omusajja ono akadde kutwalibwa mu ddwaliro nga atawanyizibwa ekirwadde ky’akafuba wabula oluvanyuma n’afiira mu muti w’abadde yewogomye.
Abatuuze bonna beesambye omulambo guno nga era teri agukutteko n’okutuusa essaawa eno.
Ye ssentebe wa LC3 owa Bukuya HajjI Sulaiman Tanula asabye…
Meeya e kibuga Kampala Erias Lukwago aliko omukuku gw’ebbaluwa gw’awandikidde abagabi b’obuyambi ng’ayagala bakole okunonyereza ku nsimbi zebazze bawa ekitongole kya KCCA okuva mu mwaka gwa 2011.
Mu bitongole Lukwago byawandikidde mwemuli World Bank, IMF, China Exim Bank ne European Union wamu n’ebirala.
Lukwago agambye nti ekiwandiiko kino kigendereddwa okulaga abagabi b’obuyambi olukwe olwalukibwa Minister wa Kampala…
Poliisi ya kampala ekutte abantu basatu abagambibwa okugezako okupangulula emmotoka y’eyali omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba
Emotoka eno kika kya Premio namba UAQ 422 U mu bitundu bye Namungoona
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti bano beebamu ku gubinja gw’abazigu abatigomya abe Namungoona, Kasubi, ne Nankulabye
Onyango agamba nti abantu bano bakuggulwakao misnago gya…
E Wandegeya KCCA emenye obuyumba bw’abasuubuzi obubadde kumpi n’oluguudo n’obuli ku bifuji.
Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba obuyumba buno buliwo mu bukyamu nga era abasuubuzi bano balabuddwa enfunda eziwera okubugyawo wabula nga baling abafuuyira endiga omulele.
Agamba bano baziba ekkubo mukoka w’alina okuyita nga kyekiviiriddeko amataba okweyongera mu kibuga mu biseera by’enkuba.
Ono aweze nga kino bwekikyali…