Amawulire
Poliisi ekyagumbye e Busitema
Poliisi ekyagumbye ku ttendekero lye Busitema ng’eno nayo abayizi baali beekalakaasa Ettendekero lino lyaggalwa ssabbiti ewedde oluvanyuma lw’abayizi okukulungula ennaku ssatu nga beekalakaasa Abayizi bano beekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikkirwa okuva ku mitwalo 10 okudda ku 20 ate nga yyo ensalo ebaweebwa yakendeera okuva […]
Mbabazi asabye awummule
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Amama Mbabazi awandiikidde abakulembera ekibiina ng’asaba bamukkirize okuwummulamu. Mu bbaluwa eriko ennaku z’omwezi 20th October omwaka guno, Mbabazi agambye nti ayagala kumuwuulamu okuva olwaleero okutuuka nga 31st December kubanga amaze emyaaka mwenda nga tawummulamu Mu bbaluwa etabadde mpanvu, Mbabazi agambye nti […]
Poliisi etubidde ku bya naggagga Kasiwuukira
N’okutuusa kati poliisi tenazuula abagambibwa okutta nagagga Erias ssebunya bangi gwebamanyi nga kasiiwukira. Kasiwukira yatomerwa emmotoka kumpi n’amaka ge e Muyenga bweyali akedde okukola dduyiro nga bweyali atera okukola buli lunaku. Poliisi etebereza nti yatomerwa mu bugenderevu. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba […]
Abayizi be makerere beekalakaasizza- babiri balumiziddwa
Abayizi 2 beebalumiziddwa nga poliisi erwanagana n’abo abakedde okwekalakaasa ku yunivasite y’e Makerere. Bano beebamu ku balumbye ekizimbe okutuula abaddukanya ettenedekero lino nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikirwa okuva ku mitwalo 9 okutuuka ku 22. Mu ngeri yeemu abakulira ettendekero lino batudde n’abakulu b’abayizi okumalawo akaleega […]
Ab’ekalangala babanja kidyeri
Abatuuze mu disitulikiti ye Kalangala bavudde mu mbeera olw’ekidyeri kyabwe ekya MV Kalangala, okumala akaseera nga kifu . Ekidyeri kino kyatwalibwa e Mwanza mu ggwanga lya Tanzania okukanikibwa kati emyezi gikoonye 9 nga tekinadda. Abatuuze bano kati bekubidde enduulu eri minisitule y’ebyentambula nga baagala ebanyonyole […]
Omusomesa abbye embuzi
Poliisi mu disitulikiti ye Pader eriko omusomesa wa pulayimale gwekutte lwakubba mbuzi 3. Patric Ojok, nga mutuuze ku kyalo Barajwa mu gombolola ye Ogom y’akwatiddwa. Ssentebe w’ekyalo, Charles Olum, agamba abatuuze bazze balinya Ojok akagere oluvanyuma lw’okutemezebwako abakinjaji beyabadde ayagala okuguza embuzi zino. Nga […]
Kasiwukira afudde
Poliisi etandise muyiggo gw’emmotoka etomedde omusuubuzi Eria Sebunnya amanyiddwa enyo nga Kasiwukira amakya galeero n’emuttirawo. Okunonyereza okukoleddwa okulaga nga Kasiwukira bw’atomeddwa mu bugenderevu bwabadde akola dduyiro, e Muyenga okulirana amaka ge. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza ng’emmotoka eno bwesimbuddwa ku […]
Akabenje mu Mabira-Kasse omu
Omuntu omu y’afiiridde mu kabenje akagudde mu mabira ku luguudo lw’e Jinja oluvanyuma lwa kabangali y’ekika kya Toyata canter namba UAN 518A okutomeragana ne ki lukululananamba ZE 4687 nga kino kibadde kidda Jinja. Bbyo eby’entabula bisanyaladde ku luguudo luno okumala akaseera nga abaserikale ba poliisi […]
Mbabazi bakyamusindikiriza
Emiranga gya ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Amama Mbabazi okulekulira gyeyongedde. Omwogezi w’akabondo k’ababaka ba palamenti aba NRM Evelyn Anite ategezezza nga nga bwe bakoze okwebuuza okwetolola eggwanga nebakizuula nti Mbabazi takyalina buwagizi mu bantu kale asaana abivemu. Ono era ategezezza nga essaawa yonna bwebagenda […]
Munyweeze Namulondo- Katikkiro
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga asabye ababaka ba palamenti abava mu Buganda ,okusimbira ekkuuli enongosereza yonna mu ssemateeka wa Uganda eziyinza okuwebuula Namulondo. Katikiro okwogera bino abadde asisikanye ababaka ba palamenti abava mu Buganda mu nsisinkano ebadde mu Bulange e Mengo. Katikiro agambye nti […]