Emirimu gisanyaladde ku Hotel ya Brovad e Masaka, poliisi bw’ezinzeeko ekifo n’egoba Dr Kiiza Besigye okuva mu lukiiko olutegekeddwa bannakyeewa
Abasirikale abampi n’abawanvu bayiiriddwa ku wooteri ebweru nebalagira Besigye okufuluma
Olukiiko luno lubadde lutegekedde kukungaanya birowoozo okuva eri abakulembeze b’ebitundu, bannabyabufuzi, bannaddiini n’abantu ba bulijjo okuva mu Buganda ku mateeka g’eby’okulonda
Abategese olukiiko luno bagamba nti Besigye tebamuyise…
Ekitongole ekiramuzi kitongozezza enteekateeka z’okugaba amangu ebibonerezo eria bantu abakkiriza emisango.
Ekigendererwa kukola ku bantu mangu era baweebwe ebibonerezo okwewala okubaleka mu makomera nga tebawozesebwanga
Atwala abalamuzi, Yorokaamu Bamwine agamba nti era abantu abakkiriza emisango basalirwa ku bibonerezo kubanga baba tebatawanyizza kkooti
N’abantu ba bulikko bajja kukkirizibwanga okubaako byeboogera ku misango kiyambe abalamuzi okusalawo nga bamanyi gyebiva.
Ebibiina by’obwa…
Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakolebwa abagambibwa okubeera abatujju nga bawakanya eky'okuwozesebwa mu Uganda
Abantu bano 11 babadde bawakanya eky'okubajja mu ggwanga lya Kenya ne Tanzania okuvunaanibwa mu kkooti za wano
Abalamuzi abataano aba kkooti ya semateeka nga bakulembeddwaamu Steven Kavuma bategeezezza nga bwewataliiwo tteeka ligaana muntu kuvunaanibwa mu ggwnaga gy'aba addirizza omusango
Abalamuzi era bagambye nti Uganda…
Mu disitulikiti ye Tororo laddu ekubye abaana b’essomero 9 .
Bano bonna bayizi mu ssomero lya Abubakari Primary School nga era baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Omu ku bakozi b’essomero lino Rose Atabong nga y’abaddusizza mu ddwaliro ategezezza nga bano laddu bwebakubye nga bazanyira mu luggya nga n’enkuba tetonya.
Omu ku basawo b’eddwaliro abaana bano gyebatwaliddwa Dr.…
Okuwulira okujulira kw’omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana empiso ya siriimu kwongezeddwayo okutuusa nga 6 November.
Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo kino nti kikakali
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga ategezezza nga ensalawo ku musango guno tenategekebwa nga n’omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Alrbert Rugadya taliiwo.
Namubiru y’aggalirwa omulamuzi wa kkooti ya Buganda Olive Kazarwe oluvanyuma…
E Buyende kkooti y’ekyaalo etanzizza omusajja kimeeme w’embuzi 3, ente 1 saako n’okumuswanyula embooko 12 lwakwenda ku muka muliraanwawe.
Magno santos y’akwatiddwa nga yekejja ne muka muliraanwa wabula poliisi nemutaasa ku batuuze ababadde bagala okumumiza omusu okukomya ejjoogo.
Nanyini Mukazi Abdul Muwuma abanjizza omutwalo gweyasasula omukyaala ono okuva eri omusiguze nga agamba akwatiddwa alina siriimu.
wabula mukyalawe…
Ab’ekibiina ekitaba abaggagga ekya Kwagalana bataddewo obukadde 15 eri omuntu anawa amawulire agakwata ku Muntu eyatomera kasiwukira
Nga basisinkanye aduumira poliisi, gen Kale Kaihura, abagagga bano abakulembeddwaamu Bulayimu Kibirige bagambye nti bakusiima omuntu yenna anabayamba okutegeera kalibutemu eyatomera Kasiwukira
Mu nsisinkano yeemu, Gen Kaihura alagidde abaduumizi ba poliisi bonna okuttukiza okulawuna ebifo ebisinga okubaamu ettemu
Kaihura asabye n’aduumira…
Ekitongole ekikola ku ntambula z’enyonyi kiragiddwa okufumuula ab’ekitongole ekiwooza mu wofiisi Entebbe lwabutasasula za bupangisa
Bano nno yadde bazipeeka abalala, naye nga nabo babanjibwa obuwumbi butaano mu z’omupangisa
Ofiisi y’abawooza Entebbe tebagisasula era nga baludde nga babanjibwa naye nga tebenyenya
Akakiiko ka palamenti akakola ku bitongole bya gavumenti keekalagidde nti ofiisi wa Uganda Revenue authority eggalwe
Bino byonna biri…
Amaggye g’eggwanga galumbye bannamawulire olw’okugayingizaamu eby’obufuzi
Kiddiridde amawulire agafulumye nga galaga Gen Kale Kaihura, Maj Gen Jim Muhwezi, ne Brig Ronie Barya balabe b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi ate nga yye Brig James Mugira bamwogeddeko nga nfanfe we.
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda agamba nti bino byakwawula mu maggye
Ankunda agamba nti bakusigala nga bakola ogwaabwe ogw’okukuuma…
Abakulembeze mu disitulikiti ye Masaka beetaga akawumbi kalamba okumaliriza ekitebe kya disitulikiti
Disitulikiti ye Masaka yadde yeemu ku zisinga obukulu mu ggwanga, terina kitebe oluvanyuma lwa Buganda okweddiza ebizimbe byaayo mweyali etuula
Omulimu gw’okuzimba gwatanidka mu mwaka gwa 2012 ku ttaka erisangibwa mu Kizungu kyokka nga buli kimu kyeesiba olw’ensimbi.
Ssentebe wa disitulikiti ye Masaka Joseph Kalungi agamba…